Zabbuli 78:1-72 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba lwa Asafu Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange, musseeyo omwoyo ku bye njogera.

2Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu ebyʼekyama ebyaliwo edda,

3Ebintu bye twawulira ne tumanya; ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.

4Tetuubikisenga baana baabwe, naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo ebikolwa bya Mukama ebyʼekitalo, nʼamaanyi ge nʼebyamagero bye yakola.

5Yawa Yakobo ebiragiro, nʼateeka amateeka mu Isirayiri; nʼalagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe,

6Abʼomu mulembe oguliddirira nabo babimanye, nʼabaana abalizaalibwa, nabo babiyigirize abaana baabwe,

7balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye.

8Baleme okuba nga bajjajjaabwe, omulembe ogwʼabakakanyavu era abajeemu abatali bawulize, abʼemyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

9Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obwʼokulwanyisa, naye ne badduka mu lutalo,

10tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

11Beerabira ebyo bye yakola, nʼebyamagero bye yabalaga.

12Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali mu nsi yʼe Misiri, mu kitundu kya Zowani.

13Ennyanja yajaawulamu, amazzi ne geetuuma ebbali nʼebbali ngʼebisenge.

14Emisana yabakulemberanga nʼekire, nʼekiro nʼabakulemberanga nʼempagi eyʼomuliro.

15Yayasa enjazi mu ddungu, nʼabawa amazzi amangi agaali ngʼagava mu buziba bwʼennyanja.

16Yaggya ensulo mu lwazi, nʼakulukusa amazzi ngʼemigga.

17Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona, ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.

18Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu, nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.

19Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti, “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?

20Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gakulukuta ngʼemigga; naye anaatuwa emmere? Anaawa abantu be ennyama?”

21Awo Mukama bwe yawulira ebyo nʼasunguwala nnyo; omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo, nʼobusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.

22Kubanga tebakkiriza Katonda, era tebeesiga maanyi ge agalokola.

23Naye era nʼalagira eggulu; nʼaggulawo enzigi zʼomu ggulu.

24Nʼabaweereza maanu okuva mu ggulu balye. Yabawa emmere eyava mu ggulu.

25Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama nʼabawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.

26Nʼakunsa empewo eyʼEbuvanjuba okuva mu ggulu, era nʼaweereza empewo okuva obukiika obwaddyo nʼamaanyi ge.

27Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ngʼenfuufu; nʼabaweereza nʼobunyonyi enkumu ennyo ngʼomusenyu gwʼokulubalama lwʼennyanja.

28Ebyokulya ebyo nʼabisuula wakati mu lusiisira lwabwe; okwetooloola eweema zaabwe.

29Awo ne balya ne bakkuta nnyo; kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.

30Naye bwe baali nga bakyalulunkana, nga nʼemmere ekyali mu kamwa kaabwe,

31obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, nʼabattamu abasajja abasinga amaanyi; abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona; newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.

33Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe, nʼabaleetako okuzikirizibwa okwa mangu era okwʼentiisa.

34Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya, ne beenenya ne badda gyʼali.

35Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe; era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.

36Kyokka baamuwaananga nʼemimwa gyabwe, nga bwe bamulimba nʼennimi zaabwe,

37so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe, era nga tebatuukiriza ndagaano ye.

38Naye ye nʼabakwatirwanga ekisa nʼabasonyiwanga, nʼatabazikiriza; emirundi nʼemirundi ngʼakoma ku busungu bwe, nʼatabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.

39Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ngʼempewo egenda nʼetedda!

40Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu; ne banakuwaza nnyo omutima gwe.

41Ne baddamu ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.

42Tebajjukira buyinza bwe; wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gyʼomulabe;

43Bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri, nʼebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,

44yafuula amazzi gʼemigga gyabwe omusaayi, ne batanywa mazzi gaagyo.

45Yabaweereza agabinja gʼensowera ne zibaluma, nʼabaweereza nʼebikere ne bibadaaza.

46Ebirime nʼebibala byabwe yabiwa enzige ne bulusejjera.

47Yazikiriza emizabbibu gyabwe nʼomuzira, era ne gukuba nʼemisukomooli gyabwe.

48Yatta ente zaabwe nʼamayinja gʼomuzira; nʼebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.

49Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, nʼekiruyi kye nʼobukambwe ne bibamalamu ensa. Nʼalyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.

50Yabalaga obusungu bwe, nʼatabasonyiwa kufa, nʼabasindikira kawumpuli.

51Yatta ababereberye bonna abʼomu Misiri, nga be bavubuka abʼebibala ebibereberye ebyʼomu nnyumba ya Kaamu.

52Nʼalyoka afulumya abantu be ngʼendiga, nʼabatambuza mu ddungu ngʼekisibo.

53Nʼabaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya, ennyanja nʼesaanyaawo abalabe baabwe.

54Nʼabatuusa ku nsalo yʼensi entukuvu; ku lusozi lwe yeewangulira, nʼomukono gwe ogwa ddyo.

55Yagobamu amawanga nga balaba, nʼabagabanyiza ebitundu byʼensi eyo; nʼatuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.

56Naye era ne bakema Katonda; ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo, ne bagaana okugondera ebiragiro bye.

57Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali, ne baggwaamu obwesigwa ngʼomutego gwʼobusaale omukyamu.

58Kubanga baasunguwaza Katonda olwʼebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.

59Katonda bwe yabiraba nʼasunguwala nnyo, nʼaviira ddala ku Isirayiri.

60Nʼava mu weema eyʼomu Siiro[16], eweema mwe yabeeranga ngʼali mu bantu be.

61Nʼawaayo amaanyi ge mu busibe, nʼekitiibwa kye nʼakiwaayo eri omulabe.

62Abantu be yabaleka ne battibwa nʼekitala, nʼasunguwalira omugabo gwe.

63Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi, ne bawala baabwe ne babulwa owʼokubawasa.

64Bakabona baabwe battibwa nʼekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65Awo Mukama nʼalyoka agolokoka ngʼali nga ava mu tulo, ngʼomusajja omuzira azuukuka mu tulo ngʼatamidde.

66Nʼakuba abalabe be ne badduka; nʼabaswaza emirembe gyonna.

67Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu, nʼekika kya Efulayimu nʼatakironda;

68Naye nʼalonda ekika kya Yuda, lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.

69Nʼazimba awatukuvu we ne wagulumira ngʼensozi empanvu; ne waba ngʼensi gye yanyweza emirembe gyonna.

70Yalonda Dawudi omuweereza we; nʼamuggya mu kulunda endiga.

71Ave mu kuliisa endiga, naye alundenga Yakobo, be bantu be, era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.

72Nʼabalabirira nʼomutima ogutaliimu bukuusa, nʼabakulembera nʼamagezi gʼemikono gye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>