Zabbuli 79:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Asafu Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo.

2Emirambo gyʼabaweereza bo bagifudde mmere ya nnyonyi ezʼomu bbanga, nʼemibiri gyʼabatukuvu bo giweereddwa ensolo ezʼomu nsiko.

3Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ngʼamazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika.

4Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

5Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ngʼomuliro?

6Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga agatakumanyi, ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.

7Kubanga bazikirizza Yakobo, ne basaanyaawo ensi ye.

8Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.

9Tuyambe olwʼekitiibwa kyʼerinnya lyo, Ayi Katonda owʼobulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olwʼebibi byaffe olwʼerinnya lyo.

10Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olwʼomusaayi gwʼabaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.

11Wuliriza okusinda kwʼomusibe; okozese omukono gwo ogwʼamaanyi owonye abo abasaliddwa ogwʼokufa.

12Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu.

13Kale nno, ffe abantu bo era endiga ezʼomu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>