1Ya Mukulu wa Bayimbi: ya Gitisi. Zabbuli ya Dawudi. ⓘ Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
2ⓙ Abawere nʼabayonka wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo nʼoyo ayagala okwesasuza.
3Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gwʼengalo zo, omwezi nʼemmunyeenye bye watonda;
4ⓚ Omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumufaako?
5Kubanga wamukola nʼabulako katono okuba nga Katonda; nʼomussaako engule eyʼobukulu nʼekitiibwa.
6ⓛ Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola nʼemikono gyo: byonna wabissa wansi wʼebigere bye,
7ebisibo nʼamagana agʼebisolo byonna ebyʼomu nsiko,
8nʼennyonyi ezʼomu bbanga, nʼebyennyanja ebyʼomu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!