1Ya Mukulu wʼAbayimbi; Zabbuli ya Asafu Mumuyimbire nnyo nʼessanyu Katonda amaanyi gaffe; muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa nʼennanga evuga obulungi eyʼenkoba awamu nʼentongooli.
3Mufuuwe eŋŋombe ngʼomwezi gwakaboneka, era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olwʼembaga yaffe.
4Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri, lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5ⓥ Yaliteekera Yusufu, Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri; gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye; nʼemikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7ⓦ Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya, nabaanukulira mu kubwatuka mu kire; ne mbagezesa ku mazzi agʼe Meriba.
7
8Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula. Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9ⓧ Temubeeranga na katonda mulala, wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10ⓨ Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi yʼe Misiri. Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11Naye abantu bange tebampuliriza; Isirayiri teyaŋŋondera.
12ⓩ Nange ne mbawaayo eri obujeemu bwʼomutima gwabwe, okugoberera ebyo bye baagala.
13ⓐ Singa abantu bange bampuliriza; singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe, ne mbawangula.
15ⓑ Abo abakyawa Mukama ne beegonza gyʼali; ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi, ne nkukkusa omubisi gwʼenjuki nga guva mu lwazi.