1Zabbuli ya Asafu ⓒ Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olwʼomu ggulu, ngʼalamula bakatonda.
2ⓓ Mulituusa ddi okusala emisango nʼobukuusa, nga musalira abanafu?
3ⓔ Abanafu nʼabatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu nʼabanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4Mulwanirire abatalina maanyi nʼabali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gyʼababi.
5Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gyʼensi gyonna ginyeenyezebwa.