1Oluyimba. Zabbuli ya Asafu Ayi Katonda, tosirika busirisi nʼetebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, nʼotobaako kyʼokola.
2Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3Bateesa nʼobujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo bʼoyagala ennyo.
4ⓗ Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, nʼerinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5Basala olukwe nʼomwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise.
6ⓘ Abantu bʼomu weema za Edomu, nʼezʼAbayisimayiri, nʼeza Mowaabu, nʼAbakagale;
7Gebali ne Amoni, ne Amaleki, nʼAbafirisuuti nʼabantu bʼomu Ttuulo.
8Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9ⓙ Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[18] ku mugga Kisoni,
10ⓚ abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ngʼobusa ku ttaka.
11ⓛ Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[19] nʼabalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12Abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13ⓜ Ayi Katonda wange, bafuumuule ngʼenfuufu, obasaasaanye ngʼebisusunku mu mbuyaga.
14ⓝ Ngʼomuliro bwe gwokya ekibira; nʼennimi zʼomuliro ne zikoleeza ensozi,
15naawe bwʼotyo bwʼoba obawondera nʼomuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo owʼamaanyi.
16Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
17Bajjule ensonyi nʼokutya, bazikirire nga baswadde nnyo.
18Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwʼoyitibwa YAKUWA, gwʼobeera waggulu ennyo ngʼofuga ensi yonna.