1Ya Mukulu wʼAbayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama owʼEggye!
2Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olwʼempya za Mukama, omutima gwange nʼomubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, nʼakataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi nʼEbyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.
5Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6ⓞ Bayita mu kiwonvu Baka, ne bakifuula ekifo kyʼensulo; nʼenkuba ya ddumbi nʼejjuza ebidiba byakyo.
7Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda owʼEggye; mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9ⓟ Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo nʼokusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema zʼabakola ebibi.
11ⓠ Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu nʼekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu kyʼataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12Ayi Mukama owʼEggye alina omukisa omuntu akwesiga.