1Ya Mukulu wʼAbayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola ⓡ Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama; Yakobo omuddizza ebibye.
2Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe, nʼebibi byabwe byonna nʼobibikkako.
3Ekiruyi kyo kyonna okirese, nʼoleka nʼobusungu bwo obubuubuuka.
4Tukomyewo gyʼoli, Ayi Katonda wʼobulokozi bwaffe, oleke okutusunguwalira.
5Onootusunguwaliranga emirembe gyonna? Onootunyiigiranga emirembe nʼemirembe?
6ⓢ Tolituzaamu ndasi, abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda, era otuwe obulokozi bwo.
8Nnaawulirizanga Mukama Katonda byʼagamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9ⓣ Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe nʼeryoka ejjula ekitiibwa kye.
10Okwagala nʼobwesigwa bisisinkanye; obutuukirivu nʼemirembe binywegeraganye.
11Obwesigwa bulose mu nsi, nʼobutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, nʼensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13Obutuukirivu bunaamukulemberanga, era bunaateekateekanga ekkubo mwʼanaayitanga.