Zabbuli 86:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Okusaba kwa Dawudi Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu.

2Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza nʼobwesigwa. Katonda wange, ondokole nze omuddu wo akwesiga.

3Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.

4Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama; kubanga omwoyo gwange nguyimusa eyo gyʼoli.

5 Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; nʼabo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.

6Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.

7Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.

8 Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ngʼebibyo.

9Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo eryʼekitiibwa.

10 Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda.

11Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.

12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, nʼomutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.

13Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe.

14Ayi Katonda, abʼamalala bannumba, ekibinja kyʼabantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita, be bantu abatakufiirako ddala.

15 Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era owʼekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala nʼobwesigwa.

16Onkyukire, onsaasire, ompe amaanyi go nze omuweereza wo; nze omwana wʼomuweereza wo omukazi ondokole.

17Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo, abalabe bange bakalabe baswale; kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>