Zabbuli 87:1-7 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.

2Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

3Ebintu ebyʼekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda.

4“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”

5Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono nʼoli baazaalirwa omwo,” nʼoyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.

6Mukama aliwandiika mu kitabo bwʼati, omuli amannya gʼabantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

7Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>