Zabbuli 88:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi, Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange, nkaaba emisana nʼekiro mu maaso go.

2Kkiriza okusaba kwange kutuuke gyʼoli; otege okutu kwo nga nkukoowoola.

3Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu, era nsemberedde okufa.

4 Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe; nfaanana ngʼomuntu atalina maanyi.

5Bandese wano ngʼafudde, nga ndi ngʼabo be basse abalinda obulinzi entaana, nga tokyaddayo kubajjukira, era nga tewakyali kya kubakolera.

6Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu, era ekyʼekizikiza ekikutte ennyo.

7Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo, ngʼennyanja esiikuuse nʼamayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.

8 Abʼemikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko, nʼonfuula ekyenyinyalwa gye bali. Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.

9Amaaso gange gayimbadde olwʼennaku. Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama, ne ngolola emikono gyange gyʼoli nga nkwegayirira.

10Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu? Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?

11Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe nʼobwesigwa bwo abo abali mu kifo ekyʼokuzikirira?

12Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo ekyʼekizikiza? Oba ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba; buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gyʼoli.

14Ayi Mukama, onsuulidde ki? Onkwekedde ki amaaso go?

15Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi nʼokufa; ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.

16Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza. Entiisa yo tendeseemu ka buntu.

17Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna; binsaanikiridde ddala.

18Ommazeeko abʼemikwano nʼabo abanjagala ennyo; nsigazza nzikiza yokka.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>