Zabbuli 89:1-52 LGCB2014 - Bible AI

1Endagaano ya Katonda ne Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo nʼakamwa kange, bumanyibwe abʼemirembe gyonna.

2Ddala ddala nnaategeezanga nti Okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna; nʼobwesigwa bwo bunywevu ngʼeggulu.

3 Nakola endagaano nʼomulonde wange; nalayirira omuweereza wange Dawudi nti

4 Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, era entebe yo eyʼobwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.

5Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo nʼobwesigwa bwo, Ayi Mukama, mu kibiina kyʼabatukuvu bo.

6Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama? Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?

7Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olwʼabatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.

8Ayi Mukama Katonda owʼEggye, ani akufaanana? Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.

9Ggwe ofuga amalala gʼennyanja; amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.

10Lakabu wamubetentera ddala; abalabe bo nʼobasaasaanya nʼomukono gwo ogwʼamaanyi.

11 Eggulu liryo, nʼensi yiyo; ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.

12 Watonda obukiikakkono nʼobukiikaddyo; ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.

13Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi, omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14Obutuukirivu nʼobwenkanya gwe musingi gwʼobwakabaka bwo. Okwagala nʼobwesigwa bye binaakukulemberanga.

15Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama nʼamaloboozi agʼessanyu; Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.

16Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde, nʼobutuukirivu bwo banaabugulumizanga.

17Kubanga gwʼobawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa. Olwʼokwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olwʼekisa kyo.

18Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe, Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

18

19 Mu biro biri ebyʼedda wayogera nʼomuweereza wo omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira owʼamaanyi; ngulumizizza omuvubuka okuva mu bantu abaabulijjo.

20 Nalaba Dawudi, omuweereza wange; ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.

21Nnaamukulemberanga, nʼomukono gwange gunaamunywezanga.

22Tewaliba mulabe we alimuwangula, so nʼaboonoonyi tebaamunyigirizenga.

23Abalabe be nʼabamukyawa ndibamerengula, nʼamaggye agamulwanyisa ndigabetenta.

24Obwesigwa bwange nʼokwagala kwange kunaabanga naye, ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba owʼamaanyi.

25Alifuga okuva ku migga okutuuka ku nnyanja ennene.[20]

26 Anankowoolanga ngʼagamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange, ggwe Lwazi olwʼObulokozi bwange.

27 Ndimufuula omwana wange omubereberye, era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna abʼensi.

28 Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna; nʼendagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.

29 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna, nʼobwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange, ne batagoberera biragiro byange;

31Bwe banaamenyanga ebiragiro byange, ne batagondera mateeka gange,

32Ndibabonereza nʼomuggo olwʼebibi byabwe, ne mbakuba emiggo olwʼebyonoono byabwe.

33Naye ssirirekayo kumwagala, wadde okumenyawo obwesigwa bwange gyʼali.

34 Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange, wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.

35 Nalayira omulundi gumu, ngʼobutuukirivu bwange bwe buli, nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”

36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna; nʼentebe ye eyʼobwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ngʼenjuba.

37Entebe ye eyʼobwakabaka erinywezebwa emirembe nʼemirembe, ngʼomwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

37

38 Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde, omukyaye era omunyiigidde.

39 Endagaano gye wakola nʼomuweereza wo wagimenyawo, nʼengule ye nʼogisuula eri mu nfuufu.

40Wamenyaamenya bbugwe we yenna, nʼoggyawo nʼebigo bye.

41Abatambuze baanyaga ebintu bye; nʼafuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.

42Wayimusa omukono gwʼabalabe be ogwa ddyo, nʼosanyusa abalabe be bonna.

43Wakyusa ekitala kye nʼotomuyamba mu lutalo.

44Ekitiibwa kye wakikomya; entebe ye eyʼobwakabaka nʼogisuula wansi.

45Ennaku zʼobuvuka bwe wazisalako, nʼomuswaza.

46Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna? Obusungu bwo obubuubuuka ngʼomuliro bulikoma ddi?

47Jjukira ekiseera kyʼobulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!

48 Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa nʼawangula amaanyi gʼemagombe?

49 Ayi Mukama, okwagala kwo okwʼedda okutaggwaawo, kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?

50 Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa, engeri abantu abʼomu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;

51Abalabe bo banvuma, Ayi Mukama; ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gyʼalaga.

52Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!

52Amiina era Amiina!

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>