Zabbuli 9:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi: ya Kimusulabbeni. Zabbuli ya Dawudi. Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama nʼomutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo ebyʼekitalo byonna.

2Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe. Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

3Abalabe bange bazzeeyo emabega, beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.

4Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, nʼensonga zange; era otudde ku ntebe yo eyʼobwakabaka nʼosala omusango mu bwenkanya.

5 Waboggolera amawanga, nʼozikiriza ababi; erinnya lyabwe nʼolisangulirawo ddala emirembe nʼemirembe.

6Abalabe obamaliddewo ddala, nʼebibuga byabwe obizikirizza, era tewali aliddayo kubijjukira.

7 Naye Mukama afuga emirembe gyonna; era ataddewo entebe ye eyʼokusalirako emisango.

8Aliramula ensi mu butuukirivu, era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.

9Mukama kye kiddukiro kyʼabo abanyigirizibwa; era kye kigo kyabwe mu biseera ebyʼakabi.

10Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga; kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe eyʼobwakabaka mu Sayuuni; mutegeeze amawanga gonna byʼakoze.

12Ajjukira nʼawoolera eggwanga era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya, onzigye ku miryango gyʼokufa.

14Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu mu miryango[1] gyʼomuwala wa Sayuuni: era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima; era nʼemitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.

16 Mukama yeeraze nga bwʼasala emisango egyʼensonga. Omubi akwatiddwa mu mutego gwʼemikono gye.

17 Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.

18Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna, era nʼababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula; leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.

20Bakankanye nʼokutya, Ayi Mukama; amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>