1Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda ⓤ Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe ekyʼokubeeramu emirembe gyonna.
2ⓥ Ensozi nga tezinnabaawo, nʼensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero yʼemirembe gyonna, ggwe Katonda.
3ⓦ Omuntu omuzzaayo mu nfuufu, nʼoyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana bʼabantu.”
4ⓧ Kubanga emyaka olukumi, gyʼoli giri ngʼolunaku olumu olwayita, oba ngʼekisisimuka mu kiro.
5Obeera nʼobamalirawo ddala nga bali mu tulo otwʼokufa. Ku makya baba ngʼomuddo omuto,
6Ku makya guba munyirivu, naye olwʼeggulo ne guwotoka ne gukala.
6
7Ddala ddala obusungu bwo butumalawo, nʼobukambwe bwo bututiisa nnyo.
8Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, nʼebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo wʼoli.
9Ddala ddala tumala ennaku zʼobulamu bwaffe zonna ngʼotunyiigidde; tukomekkereza emyaka gyaffe nʼokusinda.
10Obungi bwʼennaku zaffe gyʼemyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku nʼokutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11Ani amanyi amaanyi gʼobusungu bwo? Kubanga ekiruyi kyo kingi ngʼekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere nʼomutima ogwʼamagezi.
12
13Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi? Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya, tulyoke tuyimbenga nga tujaguza nʼessanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ngʼotubonyaabonya, era nʼokumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, nʼabaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe; weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.