Zabbuli 91:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Obwesige bwʼoyo atya Katonda. Oyo abeera mu kifo ekyʼekyama ekyʼoyo Ali Waggulu Ennyo; aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.

2Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange; ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

3Ddala ddala yʼanaakuwonyanga omutego gwʼomuyizzi, ne kawumpuli azikiriza.

4Alikubikka nʼebyoya bye, era mu biwaawaatiro bye mwʼonodukiranga; obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.

5 Tootyenga ntiisa ya kiro, wadde akasaale akalasibwa emisana;

6Newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza, wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.

7Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo, nʼomutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo, naye olumbe terulikutuukako.

8 Olitunuulira butunuulizi nʼamaaso go; nʼolaba ekibonerezo kyʼomukozi wʼebibi.

9Kubanga bwʼolifuula Mukama ekiddukiro kyo; Ali Waggulu Ennyo nʼomufuula ekifo kyo mwʼobeera,

10 tewali kabi kalikutuukako, so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.

11 Kubanga Mukama aliragira bamalayika be bakukuume mu makubo go gonna.

12 Balikuwanirira mu mikono gyabwe; oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.

13Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera; olirinnyirira empologoma eyʼamaanyi, nʼomusota.

14Olwʼokuba nga njagala kyendiva muwonya; nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.

15Anankowoolanga ne muyitabanga; nnaabeeranga naye mu biseera ebyʼakabi. Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.

16“Ndimuwangaaza nʼasanyuka era ndimulaga obulokozi bwange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>