1ⓗ Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa.
2ⓘ Entebe yo eyʼobwakabaka yanywezebwa okuva edda nʼedda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, nʼamazzi gʼennyanja gayira.
4ⓙ Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kwʼamazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo gʼennyanja.
5Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, nʼobutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.