Zabbuli 94:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1 Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga, ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.

2 Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi wʼensi, osasule abʼamalala nga bwe kibagwanidde.

3Ayi Mukama, omukozi wʼebibi alikomya ddi? Omukozi wʼebibi alituusa ddi ngʼasanyuka?

4Bafukumula ebigambo ebyʼokwewaanawaana; abakola ebibi bonna beepankapanka.

5Babetenta abantu bo, Ayi Mukama, babonyaabonya ezzadde lyo.

6Batta nnamwandu nʼomutambuze; ne batemula ataliiko kitaawe.

7 Ne boogera nti, “Katonda talaba; Katonda wa Yakobo tafaayo.”

8Mwerinde mmwe abantu abatategeera. Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?

9 Oyo eyatonda okutu tawulira? Oyo eyakola eriiso talaba?

10Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze? Oyo ayigiriza abantu talina kyʼamanyi?

11 Mukama amanyi ebirowoozo byʼabantu; amanyi nga mukka bukka.

12 Ayi Mukama, alina omukisa oyo gwʼogunjula, gwʼoyigiriza ebyʼomu mateeka go;

13Omuwummuzaako mu kabi kaalimu, okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.

14Kubanga Mukama talireka bantu be; talyabulira zzadde lye.

15Aliramula mu butuukirivu, nʼabo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

15

16Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi? Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?

17Singa Mukama teyali mubeezi wange, omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.

18Bwe naleekaana nti, “Nseerera!” Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.

19Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi, okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 Oyinza okukolagana nʼobufuzi obukyamu, obukaabya abantu nʼamateeka gaabwe?

21 Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu; atasobezza ne bamusalira ogwʼokufa.

22Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange ekyʼamaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.

23Mukama alibabonereza olwʼebibi byabwe, nʼabazikiriza olwʼebyonoono byabwe; Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>