1Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu nʼessanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olwʼobulokozi bwaffe.
2ⓢ Tujje mu maaso ge nʼokwebaza; tumuyimbire ennyimba ezʼokumutendereza.
3Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4Enkonko ezʼensi ziri mu mukono gwe; nʼentikko zʼensozi nazo zize.
5ⓣ Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; nʼemikono gye, gye gyabumba olukalu.
6ⓤ Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7ⓥ Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu abʼomu ddundiro lye, era tuli ndiga ze zʼalabirira.
7Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8ⓦ Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[21], ne ku lunaku luli e Maasa[22] mu ddungu;
9ⓧ bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10ⓨ Abantu bʼomulembe ogwo ne mbanyiigira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.
11ⓩ Kyennava ndayira nga nzijudde obusungu nti, Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.