1ⓐ Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, ebyʼamagero bye mubimanyise abantu bonna.
4ⓑ Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5ⓒ Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.
6Ekitiibwa nʼobukulu bimwetooloola; amaanyi nʼobulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7ⓓ Mugulumize Mukama mmwe abantu mwenna; mutende amaanyi ga Mukama nʼekitiibwa kye.
8Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9Musinze Mukama mu kitiibwa ekyʼobutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama nʼokukankana.
10Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama yʼafuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11ⓔ Kale eggulu lisanyuke nʼensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12Ennimiro nʼebirime ebizirimu bijaguze; nʼemiti gyonna egyʼomu kibira nagyo gimutendereze nʼennyimba ezʼessanyu.
13Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, nʼabantu bonna abalamule mu mazima.