Zabbuli 97:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama afuga; ensi esanyuke, nʼembalama eziri ewala zijaguze.

2 Ebire nʼekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu nʼobwenkanya gwe musingi gwʼentebe yʼobwakabaka bwe.

3 Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.

4 Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi nʼekulaba nʼekankana.

5 Ensozi zisaanuuka ngʼenvumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama owʼensi yonna.

6 Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; nʼabantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

7 Abasinza ebifaananyi ebikole nʼemikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

8Sayuuni akiwulira nʼasanyuka, nʼebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera ebyʼensonga, Ayi Katonda.

9 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.

10 Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bwʼabamwesiga, nʼabawonya okuva mu mukono gwʼomukozi wʼebibi.

11Omusana gwe gwakira abatuukirivu, nʼabalina omutima ogwʼamazima bajjula essanyu.

12 Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>