Zabbuli 98:1-9 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze ebyʼekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.

2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.

3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoma nʼobwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero zʼensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.

4Muyimbire Mukama nʼessanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi agʼessanyu.

5Mutendereze Mukama nʼennanga ezʼenkoba; nʼennanga ezʼenkoba nʼamaloboozi agʼokuyimba,

6nʼamakondeere nʼeddoboozi lyʼeŋŋombe. Muyimbe nʼessanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

7Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, nʼensi ne byonna ebigirimu bijaguze.

8Emigga gikube mu ngalo nʼensozi zonna ziyimbire wamu olwʼessanyu;

9byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>