1ⓡ Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane.
2Mukama mukulu mu Sayuuni; agulumizibwa mu mawanga gonna.
3Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era eryʼentiisa. Mukama mutukuvu.
4Ye Kabaka owʼamaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era byʼokoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu.
5Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi wʼentebe yʼebigere bye. Mukama mutukuvu.
6ⓢ Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama nʼabaanukula.
7Yayogera nabo mu mpagi eyʼekire; baagondera amateeka ge nʼebiragiro bye, bye yabawa.
8Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukulanga; nʼobeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri, newaakubadde wababonerezanga olwʼebikolwa byabwe ebibi.
9Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.