Zeffaniya 1:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

2“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bwʼayogera Mukama.

3“Ndizikiriza abantu wamu nʼensolo; ndizikiriza ebinyonyi ebyʼomu bbanga nʼebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”

3bwʼayogera Mukama.

4Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo nʼennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,

5abo abavuunamira eggye eryʼomu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza nʼabo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,

6abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

7Siriikirira awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Mukama ategese ssaddaaka, era atukuzizza abagenyi be.

8Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, ndibonereza abakungu nʼabaana ba Kabaka, nʼabo bonna abambadde ebyambalo ebitasaana.

9Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, nʼabo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa ebyʼobukambwe nʼobulimba.

9

10Ku lunaku olwo, bwʼayogera Mukama, eddoboozi eryʼokukaaba liriwulikika ku Mulyango ogwʼEbyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, nʼokubwatuka okunene okuva ku nsozi.

11Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale gʼakatale; abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, nʼabo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.

12Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi nʼettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ngʼomwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne kyʼakolawo.

13Obugagga bwabwe bulinyagibwa, nʼennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ezʼemizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.

14Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ngʼaliko obuyinike bungi, nʼokukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

15Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike nʼokulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana nʼokuzikirira, olunaku olwʼekikome nʼekizikiza, olunaku lwʼebire nʼekizikiza ekikutte ennyo;

16olunaku olwʼokufuuwa ekkondeere nʼokulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo nʼeri eminaala emigulumivu.

17Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ngʼabazibe bʼamaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ngʼenfuufu, nʼebyenda byabwe bivundire kungulu.

18Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olwʼobusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gwʼobuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>