2ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,olunaku ne luba ngʼebisusunku ebifuumulibwa,obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,ngʼolunaku olwʼobusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
7Olubalama lwʼennyanja luliba lwa kitundu kyʼennyumba ya Yuda ekyasigalawoera we banaalundiranga,ne mu nnyumba za Asukuloonimwe banaagalamiranga akawungeezi.Mukama Katonda waabwe alibalabirira,nʼakomyawo obugagga bwabwe.
8ⓑ Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu nʼokusekerera kwʼAbamonikwe bavumye abantu bangene batiisatiisa ensi yaabwe.
9Kale nga bwe ndi omulamu,bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,nʼabaana ba Amoni nga Ggomola,ekifo emyennyango kye gyemala, nʼebirombe byʼomunnyo,amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,nʼekitundu kyʼeggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
9
10Eno yʼeriba empeera yaabwe olwʼamalala gaabwe,kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11Mukama aliba wa ntiisa gye balibwʼalizikiriza bakatonda bonna abʼensi.Amawanga gonna agʼoku mbalama zonna galimusinza,buli muntu ngʼasinziira mu nsi ye.
13Aligololera omukono gwe ku bukiikakkononʼazikiriza Obwasuli;nʼafuula Nineeve amatongoera ekikalu ngʼeddungu.
14Ente nʼendiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,nʼensolo zonna eza buli kika:ekiwuugulu era ne nnamunnungubanaasulanga ku mpagi zaakyo.Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;kafakalimbo ajjudde mu miryango,nʼemikiikiro egyʼemivule giryelulwa.
15Kino kye kibuga ekya kyetwala,ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:nga kifuuse bifulukwa,ekifo ensolo ezʼomu nsiko we zigalamira!Buli muntu akiyitako aneesoozanganʼakinyoomoola.