Zekkaliya 1:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi wʼe Buperusi mu mwezi ogwʼomunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti,

2“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe.

3Naye kaakano mubagambe nti Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda owʼeggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye, ‘nange nadda gye muli,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

4Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi abʼedda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, nʼebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bwʼayogera Mukama.

5Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna?

6Ebigambo byange nʼebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?

6“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama owʼEggye bye yasuubiza okutukola olwʼempisa zaffe embi nʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bwʼatyo bwʼatukoledde ddala.’ ”

7Ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogwʼekkumi nʼogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti,

8 Nalaba ekiro ngʼomusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, nʼeza kikuusikuusi, nʼemyufu.

9Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange nʼaŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”

10Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti nʼaddamu nti, “Ezo embalaasi Mukama zʼasindise okulawuna ensi.”

11Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”

12Awo malayika wa Mukama nʼagamba nti, “Ayi Mukama owʼEggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi nʼebibuga bya Yuda kisa, byʼosunguwalidde okumala emyaka ensanvu?”

13Mukama nʼalyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.

14Awo malayika eyali ayogera nange nʼagamba nti, “Langirira ogambe nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obwʼamaanyi,

15naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’

16“Noolwekyo, bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi nʼekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.

17“Yogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, Mukama Katonda owʼEggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”

18Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana.

19Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”

19Nʼanziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu abʼomu Yuda, nʼabʼomu Isirayiri, nʼabʼomu Yerusaalemi.”

20Awo Mukama nʼandaga abaweesi bana.

21Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?” Nʼaddamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era nʼokubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>