1Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo; kubanga Mukama yʼakola ebire enkuba nʼetonnya, olwo buli muntu nʼafuna ebirime.
2Kubanga bakatonda abalala nʼabalaguzi balaba okwolesebwa okwʼobulimba; ne baloota ebirooto ebyʼobulimba, ne bagumya abantu ebyʼobulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ngʼendiga, nga banyigirizibwa olwʼobutaba na musumba.
3“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama owʼEggye ajja kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda, era alibafuula ngʼembalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
4Mu Yuda mulivaamu ejjinja eryʼoku nsonda, muveemu nʼenkondo enyweza weema, muveemu nʼomutego ogwʼakasaale era muveemu na buli mufuzi yenna.
5Bonna awamu balyoke babe ngʼabasajja abazira ennyo mu lutalo abatambulira mu bitoomi byʼomu nguudo mu biseera ebyʼentalo. Kubanga Mukama ali nabo, balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
5
6“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi era ndiwonya ennyumba ya Yusufu, ndibakomyawo kubanga mbakwatiddwa ekisa. Balibeera nga be sseegaanangako era ndibawulira kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
7Olwo aba Efulayimu baliba ngʼabasajja abʼamaanyi, emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ngʼabanywedde wayini. Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka, omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
8Ddala ndibawonya ne mbakuŋŋaanya. Ddala ndibanunula, baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
9Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga, naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira. Bo nʼabaana baabwe baliba balamu era ne bakomawo gye ndi.
10Ndibakomyawo okuva mu Misiri, mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli. Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
11Baliyita mu nnyanja eyʼokubonaabona; ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa, nʼobuziba bwa Kiyira bwonna bulikala. Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu nʼomugo ogwʼobufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
12Ndibafuula bamaanyi mu Mukama era nabo balitambulira mu linnya lyange,”