1
2
3
4Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa.
5Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. Nʼabo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa.
6Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bwʼayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”
7Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gyʼabasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga.
8Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ngʼebakyaye era nabo nga bankyaye.
9Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze nʼabantu bonna.
11Endagaano nʼagikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi bʼendiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.
12
13Awo Mukama nʼaŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogwʼekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye.
15Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu ebyʼomusumba omusirusiru bye yandikozesezza.
16Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ngʼaziyuzaako ebinuulo.
17