Zekkaliya 12:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Kino kyʼekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bwʼati bwʼayogera Mukama eyabamba eggulu era nʼassaawo emisingi gyʼensi, era nʼakola nʼomwoyo gwʼomuntu ogumulimu.

2“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa.

3Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, agʼensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago.

4Ku lunaku olwo, bwʼayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso gʼembalaasi za bannaggwanga ndigaziba.

5Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu bʼomu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda owʼEggye ye Katonda waabwe.’

6“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ngʼogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ngʼolumuli olwʼomuliro mu makkati gʼebisusunku. Balimalawo amawanga gonna agʼoku njuyi zonna, olwʼoku kkono nʼolwʼoku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, nʼabantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.

7“Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa kyʼennyumba ya Dawudi, nʼekitiibwa kyʼabatuuze bʼomu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda.

8Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze bʼomu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ngʼennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu.

9Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.

10 “Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo owʼekisa nʼokwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ngʼomuntu bwʼakungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ngʼomuntu bwʼalumirwa mutabani we omubereberye.

11Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ngʼokwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni.

12Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika ekyʼennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, nʼekika kyʼennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka;

13Ekika ekyʼennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, nʼekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe;

14nʼebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>