1“Ku lunaku olwo ensulo zʼamazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi nʼabatuuze bʼomu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi nʼobutali bulongoofu.
2“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi nʼomwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
3Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde ebyʼobulimba mu linnya lya Mukama.” Bwʼaliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
4“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olwʼokwolesebwa kwe okwʼobulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe ekyʼebyoya okulimba abantu.
5Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’
6Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu nʼabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
7
8
9