Zekkaliya 14:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1 Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.

2Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe nʼabakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri ekyʼekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

3Awo Mukama alivaayo nʼalwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olwʼolutalo.

4Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu ekyʼolusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo.

5Nammwe muliddukira mu kkubo eryʼomu kiwonvu ekyʼolusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja nʼabatukuvu be bonna.

6Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti.

7Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.

8Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja eyʼEbuvanjuba nʼamalala mu nnyanja eyʼEbugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

9Mukama alibeera kabaka owʼensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka nʼerinnya lye liribeera erinnya lyokka.

10Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.

11Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.

12Ono ye kawumpuli Mukama gwʼalikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, nʼennimi zibavundire mu kamwa.

13Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango ekyʼamaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana.

14Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bwʼensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu nʼeffeeza nʼebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa.

15Era kawumpuli ngʼoli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, nʼendogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

16Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka owʼEggye era nʼokukwatanga embaga eyʼensiisira.

17Omuntu yenna mu nsi bwʼataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka owʼEggye, taafunenga nkuba.

18Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga eyʼensiisira.

19Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri nʼamawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

20Ku lunaku olwo ekigambo kino, KITUKUVU ERI MUKAMA, kinaawandikibwa ku bide byʼembalaasi era nʼentamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ngʼebibya ebitukuvu mu maaso gʼekyoto.

21Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama owʼEggye; nʼabo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama owʼEggye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>