Zekkaliya 2:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ngʼalina mu mukono gwe olukoba olupima.

2Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?”

2Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu nʼobugazi bwakyo.”

3Awo malayika eyali ayogera nange nʼagenda, malayika omulala nʼamusisinkana.

4Nʼamugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olwʼobungi bwʼabantu nʼebisibo ebinaabeeramu.

5Nze ndiba bbugwe owʼomuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bwʼayogera Mukama.

6“Kale mudduke, mudduke ensi eyʼobukiikakkono mugiveemu,” bwʼayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ngʼempewo ennya ezʼeggulu bwe ziri,” bwʼayogera Mukama.

7“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.”

8Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Mukama nga bwʼampadde ekitiibwa nʼantuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye.

9Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama owʼEggye ye yantuma.

10“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bwʼayogera Mukama.

11“Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama owʼEggye ye yantuma gyʼoli.

12Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi.

13Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>