1
2Mukama nʼagamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?”
3Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ngʼayambadde ebyambalo ebijjudde ekko.
4Malayika nʼagamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”
5Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza nʼengoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
6Malayika wa Mukama nʼakuutira nnyo Yoswa ngʼayogera nti,
7“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Bwʼonootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
8“‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kwʼotegeerera ebyʼomu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi.
9Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi kyʼensi eno.
10“‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi wʼomuzabbibu gwe ne wansi wʼomutiini gwe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”