1Awo malayika eyali ayogera nange nʼakomawo, nʼanzuukusa ngʼomuntu bwʼazuukusibwa mu tulo.
2Nʼambuuza nti, “Kiki kyʼolaba?”
3Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogwʼakabakuli, nʼomulala ku mukono ogwa kkono.”
4Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5Malayika eyali ayogera nange nʼaddamu nʼaŋŋamba nti, “Tobimanyi?” Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
6Awo nʼaddamu nʼaŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.
7“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira nʼokwogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama owʼEggye ye yantuma gye muli.
10“Ani anyooma olunaku olwʼebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
11
12Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri agʼemizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
13Nʼanziramu nti, “Tobimanyi?”
14Awo nʼaddamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama owʼensi yonna.”