Zekkaliya 5:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gwʼekitabo ogutambulira mu bbanga.

2Nʼambuuza nti, “Kiki kyʼolaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gwʼekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda nʼobugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”

3Awo nʼalyoka aŋŋamba nti, “Ekyo kyʼekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala.

4Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba yʼomubbi ne mu nnyumba yʼoyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo nʼamayinja gaayo.’ ”

5Malayika eyali ayogera nange nʼakomawo nʼaŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”

6Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?” Nʼanziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era nʼayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”

7Awo ekibikka kyakyo, ekyuma ekyʼessasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ngʼakituddemu.

8Malayika nʼaŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” Nʼamusindika nʼamuzza munda mu kisero, nʼaggalawo omumwa gwakyo nʼekisaanikira ekyʼekyuma ekyʼessasi.

9Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ngʼebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati wʼensi nʼeggulu.

10Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”

11Nʼanziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali eyʼe Babulooni, okuzimba ennyumba yʼomukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bwʼeriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>