Zekkaliya 6:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali gʼembalaasi ana nga gava wakati wʼensozi bbiri, nʼensozi ezo zaali nsozi za bikomo.

2Eggaali esooka ngʼesikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu.

3Eggaali eyokusatu ngʼesikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ngʼesikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu nʼobwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali zʼamaanyi.

4Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”

5Malayika nʼanziramu nti, “Ezo zʼempewo ennya ezʼomu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama owʼensi yonna.

6Ekigaali ekyʼembalaasi enzirugavu kigenda mu nsi eyʼomu bukiikakkono, ate ekyo ekyʼenjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ezʼobwoya obweru, kiraga mu nsi eyʼomu bukiikaddyo.”

7Awo embalaasi ezo ezʼamaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; nʼazigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.

8Awo nʼampita nʼaŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi eyʼobukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi eyʼomu bukiikakkono.”

9Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti,

10“Genda eri bano: Kaludayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali.

11Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.

12 Mugambe nti, bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.

13Oyo yʼalizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼafuga. Era yʼaliba Kabona ku ntebe ye eyʼobwakabaka; walibaawo okutegeeragana okwʼemirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’

14Era nʼengule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ngʼekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya.

15Era nʼabo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama owʼEggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe nʼobumalirivu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>