Zekkaliya 7:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olwʼomwezi ogwʼomwenda oguyitibwa Kisuleevu.

2Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki nʼabantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama,

3nʼokusaba bakabona bʼomu nnyumba ya Mukama owʼEggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”

4Awo ekigambo kya Mukama owʼEggye ne kinzijira nga kigamba nti,

5“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gwʼomusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze?

6Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era nʼokunywa ku lwammwe?

7Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi abʼedda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga nʼebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu ebyʼensenyi mukyalimu abantu?’ ”

8Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti,

9“Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Musalenga emisango egyʼensonga, mukwatirweganenga ekisa nʼokusaasiragananga buli muntu eri muganda we.

10Temutulugunyanga bannamwandu, nʼabatalina bakitaabwe, nʼabatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu nʼomu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’

11“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba nʼamatu gaabwe baleme okuwulira.

12Ne bakakanyaza emitima gyabwe ngʼejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama owʼEggye bye yaweereza nʼOmwoyo we mu mukono gwa bannabbi abʼedda. Mukama owʼEggye kyeyava abanyiigira ennyo.

13“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

14Era nabasaasaanya nʼomuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka nʼebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>