1Ekigambo kya Mukama owʼEggye ne kinzijira nate nti,
2Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obwʼekitalo.”
3Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama owʼEggye, Olusozi Olutukuvu.”
4Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Abakadde abasajja nʼabakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olwʼobukadde.
5Nʼenguudo ezʼekibuga zirijjula abalenzi nʼabawala nga bazannya.”
6Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Kirirabika ngʼekyʼekitalo mu maaso gʼabantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
7Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi eyʼEbuvanjuba nʼabali mu nsi eyʼEbugwanjuba:
8Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
9Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Emikono gyammwe gibe nʼamaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gwʼennyumba ya Mukama owʼEggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
10Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olwʼomulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we.
11Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bwʼayogera Mukama owʼEggye.
12“Kubanga ensigo erikula bulungi, nʼomuzabbibu gubale ekibala kyagwo, nʼettaka lireetenga ekimera kyalyo, nʼeggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe.
13Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe nʼamaanyi.”
14Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bwʼayogera Mukama owʼEggye, “era ne sibasaasira,
15bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi nʼennyumba ya Yuda. Temutya.
16
17tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bwʼayogera Mukama.
18Ekigambo kya Mukama owʼEggye ne kinzijira nate nti,
19Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, nʼogwokutaano, nʼogwʼomusanvu, nʼogwʼekkumi kunaabeeranga mbaga eyʼessanyu era nʼokwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima nʼemirembe.”
20Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Amawanga mangi nʼabantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era nʼokuva mu nsi nnyingi;
21era abʼekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama owʼEggye. Nze kennyini ŋŋenda.’
22Abantu bangi nʼamawanga mangi agʼamaanyi galijja okunoonya Mukama owʼEggye mu Yerusaalemi nʼokwegayirira Mukama.”
23Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo kyʼOmuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”