1ⓕ Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki era kirituuka e Ddamasiko. Kubanga abantu bonna nʼebika byonna ebya Isirayiri batunuulidde Mukama,
2era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo, ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
3Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza nʼeba ngʼenfuufu, ne zaabu nʼeba nnyingi ngʼettaka eryʼomu kkubo.
4Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo, alizikiriza amaanyi gaakyo agʼoku nnyanja, era kiryokebwa omuliro.
5ⓖ Asukulooni bino kiribiraba ne kitya; ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okwʼamaanyi. Era nʼessuubi lya Ekuloni liriggwaawo; Gaza aliggyibwako kabaka we, ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6Abagwira balitwala Asudodi, era nʼamalala gʼAbafirisuuti ndigamalawo.
7Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke nʼemmere eyʼomuzizo okuva wakati mu mannyo ge. Nʼabo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe, balifuuka bakulembeze mu Yuda, ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
8Naye ndirwanirira ennyumba yange eri eggye eddumbaganyi, so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange kubanga kaakano mbalabirira.
9ⓗ Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gyʼoli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gwʼendogoyi.
10ⓘ Efulayimu ndimuggyako amagaali, ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi, nʼomutego gwʼobusaale gulimenyebwa era alireeta emirembe mu mawanga, nʼobufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero zʼensi.
11Naawe ggwe, olwʼomusaayi gwʼendagaano gye nakola naawe, ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi; nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13Yuda ndigiweta ngʼomutego ogwʼobusaale ngujjuze Efulayimu. Ndiyimusa batabani ba Sayuuni, balwane nʼabaana bo, ggwe Buyonaani, mbakozese ngʼekitala ekyʼomutabaazi.
13
14Era Mukama alirabika ngʼali waggulu waabwe, akasaale ke kamyanse ngʼokumyansa kwʼeggulu. Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere, nʼakumbira mu muyaga ogwʼomu bukiikaddyo.
15Mukama owʼEggye alibakuuma. Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo, balinywa ne baleekaana ngʼabatamiivu. Balijjula ngʼekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda zʼekyoto.
16Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be ngʼomusumba bwʼalokola ekisibo kyʼendiga ze. Balitangalijja mu nsi ye, ngʼamayinja agʼomuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17Nga baliba balungi era abatuukirivu! Emmere eyʼempeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza, nʼabawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.